Paul KafeeroPaul Kafeero

Walumbe Zaaya atukola bwati
Bakaabasajja b’otugumbula otyo
Oli wa ngeri ki atayisa balungi?
N’abessimbo n’obafaggyiya otyo!
Laba bw’olekawo ab’emitwe emiyaaye
Oli wa ngeri ki atamanyi bateefu?
Onkutulidde ne guitar nsula nkuyimba
Komaaniina ogira okubulwa w’osula
Oli mubbi nnyo mundeke mulangire
Gwe ate tunaayogera ng’abali e bukoddomi?
N’owulira enduulu n’emiranga maama
N’abagagga abasikambula mu ma benz
Laba obwa mulekwa bwe bwefuze Obuganda!
Lwa ttima olutulesa amabujje
Ne lufaakuuza n’abali e buziizi
Ne lulindiggula n’abali mu bire eyo
Lwa ndasi lulya n’abava e Bulaaya
Omutemu awenja ne mu nda z’abakyala
N’akunyuulayo n’obutonda maama!
Ate takuba miss n’obugi abugaaya!
Nkugambye luzibu tulya nalwo eka
Ne mu bifo awasanyukirwa luli eyo kyema
Luli mu nguuli gye twekeserera eyo
Kale luzibu olwetiba atamidde

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo woowe woowe
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Kyokka ggeteggete ssebo Walumbe
Nze luntunuza ng’atali musajja
Gwe atalina guitar wa gy’olaza abayimbi?
Bosomba obuliza etali siteegi
Aba reggae n’aba Bossa nova
N’aba Kadongokamu n’otugattika otyo
Ssebo gy’otutwala tetuli butuulo
Emagombe wala eyo etava kalungi
Na bonna be yetwala mpaawo alidda
Bali mu bibululu etava ddoboozi
Eyo mu nzikiza ewatali ttawaaza
Nange Paulo gye ndaga ewala eyo
Mu ttambiro ly’eyo ewabunye entiisa
Era y’ewaabulira n’owuwo omulungi
Ky’ova ondaba nkuba guitar ngayaala
Na byonna bye nkola tebimpa maanyi
Bannange essaawa y’okufa eriko ebibuuzo
Ate ne byanukulwa bityo engeri entamiivu!
Ky’ekitawaŋŋanya nange eyalya amabanja
Ebirinjogerwako awatali kuwuuna
Bwentyo ne neewunika ne mba ng’omukyawe
Ani alinjulira ndiba nziyidde oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Lusika abanene ababunye ebitiibwa
Ne lukkalira lubuukulire ng’omwo
Ab’emibiri egyeyiwaayiwa abo
Ssebo bonna telubatiisa maaso!
Lubawereba puleesa n’alusa oyo
Ne basindogoma n’olutya lusajja!
Ne luyingirira n’amaka amalungi
Ne luleka ebifulukwa ndifa ndulojja
Eyo ewajjanjabirwa eno ensi yafa dda
Balala lubazingirako waka eyo
Lwa ttima olutwenyaza mu baana
N’ofuuka ekyenyinyalwa bwotyo
Leero n’ofa ng’oweddemu omuwendo
Kw’ogatta n’obulumi obw’ekika ekiboofu
Lugaba n’emitima egy’ekinyanya mwattu
Mu bantu bannaffe be tunyumya nabo abo
Oli n’akusanjaga awatali kutyanamu
Naatakubya ngeri ki gy’olekamu mabujje!
Oluusi omuntu ng’oyo abeera n’ababe eka
Gwe ababo ne baba ng’abatali baana
Abagumba b’emitwe abo bantama nze
Abatusuza twaziirana mu miranga

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo woowe woowe
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo nedda nedda
Kitalo nnyo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Labayo ab’ensusu embi bo abatiini
Basinduka baweddemu omuchuzi
Abalungi n’ababi bonna abagasse
Njagala ndabe ku lulimi lwa Walumbe
Olwo olugattika ebikaawa n’ebiwoomu
Oba Mabiriizi lwamulya ngayadde!
Ndowooza lwa nniimisa ntamidde
Munnange omuto eyali amanyi okuyimba
Ate nga nange lummanyi eddoboozi
Kale kyenva nnumira mu bye ntera okuyimba
Tulabye n’obulumi obutagenda kuggwa
Kino kitalo nnyo kitalo baana battu
Afazaali singa abazaawa badda
Ne batubuulira bwefaanana ewala eyo
Abalenzi abaali ab’ebitiibwa
Bonna lwa bayuza amasuuti
Luulwo ne mu byana by’abagagga
Lukonjobola ng’olusa obuwunga
Lwa ndasi lulya n’amanyi Oluzungu
Teluliiko musomi na mukaafiiri
Eyo ennyanja lwagimalamu obukejje
Naye ate nze aweramu guliivi oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Mulabe obwama bwe bwefuze abateefu
Beekengera zzisabusolo oyo
Twegeya tuli ku mabbali awo
Baka banene nze mutya okubaasa
Kyokka bw’olowooza okufa nga weenyazenyaze
Kufa bwe liri tteeka n’oyoya ekikutuko
Mpaawo n’asobola kwawula mu nfa ye
Wabula twekanga lumaze okutuuka
Buli omu n’engeri ye ne bw’eba ya kikangabwa
Mpaawo musanvu gy’ekitega maama
Nazaala wange ye ssinga amusonyiwa
Anzaalira omukuuma ka omulungi
Owange mpa oluguuli nnywe ndabe gwe
Abawoza kiki agunywa engeri eyo
Kati olwo nnywe petelooli nze atali mmotoka?
Oba mu mmotoka mwe baba bayiwa enguuli?
Nze ssiwubwangako kuva ku ndeku awo nedda
Oyo aneenyinyala angobanga ewuwe eka
Mwenge gwe gutuga abafa ebikutuko?
Oba gwe gutilimbula obuva ku mabeere?
Ye gwe atanywa olifa otya nkubuuza?
Leka nno bajje bakkube ogubundu
Olyoke omanye bwe tutudde mu giraasi
Nti ziizino zafuuka miggo buggo
Eno ensi okugyamuka n’entaayi tesala
Nze ndeka ne miima lunzita ntamidde
Luno lulya n’obukazi obutanaaba maaso!
Lwamalako telweganya bicaafu yiiyi!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo woowe woowe
Kitalo nnyo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Lufumbiikiriza abakola entegeka
Bwe lubasanga mu makubo tebadda waabwe
Kati ku mpya ludibizaayo abalungi
Ne babula anyeenya luli olutyanga
Labayo ennaku bwe yeefuze abasajja
Okuyita mu makubo ng’abatalina maaso
Luno lutwepankiddeko nkugambye
Okufulula abamanyi Oluganda
Ebirungi lutubiresa awo, ha!
Naye kale Mukama bwatyo
Ne lusattulula abafumbo abalungi
Omwagalwa wo n’aserengeta ewala eyo
N’osigala ku bwa ssemwandu bw’otyo
Ofunda n’obwa luli naye ate obwa luno
Ne lusiikuula abaateesa obulungi
N’olaba amatemu bwe gayitiŋŋana awo
Obugumba n’obuwuulu byotatya gwe?
Bye lusibye mu mayumbe g’abasajja
Luwalampye n’e Makerere mu bagunjufu
Diguli luzibalese emitwetwe
Kyokka ayi Mukama olina obusungu
Okutuliyisa essango eritazzibwa ffe!
Jajja w’olulyo eyasobya gy’oli
Gwe wandibonerezza n’okoma okwo
Naye ffe kaakano tulinga baana
Abataamanya kyaliwo okusooka
Ssinga lulya nguzi awo kyandibadde wadde
Nange nandipakasizza ne ngulirira
Labayo ezaali entumbwe z’abalungi
Giringa minyolo gya bu namunjoloba
Oyo tolaba enkompe mwatunuulira kati
Ssebo bonna baali bantu ba muwendo
Ab’embuto ezibooleka ebisente
Basongodde lwabaganzika eyo
Kye twalya twandikizizza gye kyava
Okusinga okuziraga tuti
Ye ne bwe n’awoloma emiti okukuuka
Mpaawo kirikyukako yarabbi
Mbasiibudde nsaasira abalwadde
Mukama waffe abaŋŋumize bambi
Ne nsabira n’abali ku lukuusi
Ddunda abawe ekiwummulo ekirungi
Olusibira mu bbwa luno ndifa ndulojja
Luzibu nnyo lukambwe baana battu
Olusibira mu bbwa luno ndifa ndulojja nze
Luzibu nnyo lukambwe baana battu oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo

Read Paul Kafeero – Mukama Waffe Lyrics

Share: Walumbe Zaaya Lyrics by Paul Kafeero

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.