Abanywanyi mujje nzirayo ewaffe by’ebigere bino
Bye nkuŋaanyiza bye byange namala kubba?
Mukuŋaane buli alina akatanda akampe
Kano ke kadde nziriddeyo ddala ewaffe
Naagazina edda oyo baamufuuwa nkanja
Mundeke ŋende nga nkyalimu n’agassa
Abagumiikiriza ennyo abamu batwala keesi
Ensonga eyo ky’ekimu ku bintutte
Nzize e Masaka mu mirembe n’obumalirivu
Mbalabyeko nnyo alintoma alibeera mubi
Nkubye endongo ensimbi ne mukuŋaanya
Bwe mba nazikwata bubi gwe gumu ku ginsinga
Naye bwe mbeera nga nina ke nkuŋaanyizza
Mundeke ntwale ako Mukama k’ampadde
Mbasiimye nnyo okunkumaakuma ebbanga lino
Emyaka omwenda ddu we muggye Mukama azzeewo
Ncakadde nnyo mpaawo ssanyu lya bulamu wano
Lye ssikombyeko alimba abeera mubi
Nkubye endongo n’e Bulaaya ne ntuuka
Kaakati okugyesibako ki ate kye nginoonyamu
Kano akatono ke nfunyeemu ke kange
Aah, guitar nnyuka nkutadde wali

Mbalire ŋenze
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nzize ewaffe nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya oba ewiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati muntikke
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋendera ddala omu nga bwe najja
Munnaffe otulabyeko nnyo
Bambi Mbalire kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze baaba

Wadde seetisse nnyo bugule bwa ntwala
Akatono ako ke ntutte kuba eriyo abagenderawo
Wadde seetisse nnyo bugule bwa ntwala
Akatono ako ke ntutte kuba eriyo abagenderawo
Ye ninda ebingi nabiragaanya ani?
Bwe nfunyeewo bwe ntutte
Ŋende nnyanja kko mu maaso ga taata
Ne nnyabo nti bannange ebikira awo byambulayo
Najja ne Nabiryo ngya kibategeeza
Nti mwannyinaze takyuusizza abeera ku bufumbo Kazo
Ngya gejja nnyo nga ndya ku mmere etegulwa
Eya kuno entawanyizza nnyo nnyo nkoleredde kulya
Omuntu omukulu alina n’ensiko etudde
Mbadde nsasula emyera mundeke gwe ne mmalamu
Mbadde ku nnyanja eno Ggaba naye amazzi
Nga batuguza maguze eki jerry can
Mu kyalo ate oluzzi lutuli mmanju
Ebintu bino saabimanyiira leka gwe ne nzirayo
Mmwe bannange mugira muwadaawadako
Naye nze bwe bisukka wano gye ndaga binaaba bibi

Nedda nedda ŋenze
Munnaffe otulabyeko nnyo
Mbalire ŋenze nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Leka nzire ewaffe
Munnaffe otulabyeko nnyo
Abange kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya oba ewiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati muntikke
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋendera ddala omu nga bwe najja
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze baaba

Ngya kweyanika n’empale ngisuule wali
Mundabe nneme ogenda ng’eriyo abakunkunamu
Ngya kweyanika n’empale ngisuule wali
Mundabe nneme ogenda ng’eriyo abakunkunamu
Ssikyaswala nti nzira gye banzaala
Bwe nfunyeewo bwe ntutte y’ebingi binaava wa?
Zo sitoma ensimbi nzigyabaaseemu
N’emmotoka ne nzivuga ate kika ki kye ssivuze?
Abo abakazi kizibu okuteebereza omuwendo
Gwe n*a nabala ne mbalemwa
Oba kaŋambe omulimu nakwata mubi
Gwe omulimu gw’amasanyu ani adigida n’okeesa!
N’abampaana nammwe mwammamaaza nnyo
Ebintu kati lwe mbiraba olw’akagugu kano!
Makungula ki gano Basudde gaatwala
Yandibaddeko omulala nga nayimba ne nderuka
Ab’emikago mwenna nandibatisse entwala
Ne tutuuka eka nga fenna tubulidde muli
Naye kati ogenda nteekwa na kugenda omu
Era okuyingira ewange ngya kuyitira mmanju
Naye sitoma kuba eriyo abagenderawo
Nandibagambyeyo omu ntya kusitula mpalana
Abalala balinze kya gendera mu keesi
Ng’anti abuze ky’atwala ate omufu omubanja kiki?

Kale ŋenze
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nzize ewaffe nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya oba ewiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati muntikke
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋendera ddala omu nga bwe najja
Munnaffe otulabyeko nnyo
Abange kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze baaba

Mu buli ngeri nzizeeyo kulimaalimako
Anti oluggube lw’abaana lwe nina lusaana kulya
Mu buli ngeri nzizeeyo kulimaalimako
Anti oluggube lw’abaana lwe nina lusaana kulya
Eky’omukisa wo ew’okulima ninawo
Z’ezimu ku zi chance ŋenze nina n’obuvumu
Balindabisa enkumbi y’obukadde
Nze abadde apakasa atudde mu bitiibwa n’enduulu
Nsiibe musana sso omulimu kwe mbadde
Nga mpakasiza mu nju ate we bayooyoose
Nkubye endongo naye amakungula, aah ah
Zirindabira eyo nzizeeyo gye nzaalwa
Njogera amazima ensimbi zandikuŋaanye
Kuba muzireeta nnyo naye nabulwa gye nfissa
Buli lukumi lwa siringi lwe nkwata
Kubaako bibiri ebyange olunaana lukwata liri
Guno omulimu mpaawo atagunyuunyuuse
Ffe ate bambi ba nnyini gwo mpaawo yasomaasomako
Bwe baakimanya nti okusoma kwatulema
Ab’emitwe emibanguleko bonna ne bakuŋaana
Ne tuyimba enfuufu okutuuka lw’ettunka
Abaasoma ne beeyolerako ezimu ne beddukira
Obufisseewo bwe tujja ne tukuŋaanya
Mwe nguze obwo bwe ntwala ki ate kye soogedde?

Nedda nedda ŋenze
Munnaffe otulabyeko nnyo
Mbalire kaŋende nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya k’ebe wiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati nzize ewaffe
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze kulimaalimako
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nakitto kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati muntikke
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋendera ddala omu nga bwe najja
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nzize ewaffe
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze bannange
Munnaffe otulabyeko nnyo

N’otambula ensi yonna n’ekukungiriza
Bamala ku bannaffe omusimbi bayoola nnyo
Mazima z’eziriwa kano kagugu nabaki?
Mumpa za kukookoonya ate ezimu muzizzaayo
Kalango bulango akalanga gye naaba
Kamala bumazi okkulaga bwe nfunye ne bwe nfulumya
Ŋenze okulima ate ndiba mbirangira b’ani?
Be ndiba nkoowoola okulaba bwe nkabala
Butono bwa nju buno kyokka nandisinzeewo
Ekyannemya okutaggulukuka nseke ezinyuunyuuta
Nkooye omulimu ogwabulwa enfo w’ogussa
N’oba mu kuyenjeera n’eka ne bakwerabira!
Teri gye simanyi eno ensi ngitalaazeemu
Wabula obwo bwe ntwala eka guitar eyo n’akagugu
N’otambula n’omuwere n’atenda
Wabula ŋanyuddwa ki era ewaka mbagambe ntya?
Kasita ŋenze teri bantu bammanja
Wabula nga bwe ntutte ssi bwe bubadde bungyaamu

Nedda nedda ŋenze
Munnaffe otulabyeko nnyo
Mbalire ŋenze Mbalire kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Bambi Nakitto kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze kulimaalimako
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya oba ewiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati muntikke
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋendera ddala omu nga bwe najja
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati nzize ewaffe
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze

Ŋenze okulima n’okuwatanya emirala
Obudde bwange bwampitako nnyo
Nga nkola mmwe ssifunye
Ŋenze okulima n’okuwatanya emirala
Obudde bwange bwampitako nnyo
Nga nkola mmwe ssifunye
Ssaako abantu okunteebeza bye sirina
Ate nga bambi toobanenye bbo balaba tujjuzza
Kati emisoso ogenda ogitema ogimale
Osigala oyayuuya nnyo lwaki ye ngwesibako
Ekyo kisse wali n’ekitiibwa kyabulamu
Mazima ne gw’osinga olaba bw’akulengezza
Bwoba okyabigumidde ate ne banno bo
B’okola nabo ne bafuuka omuwaatwa gw’ennaku yo
Anti muzikoze emisoso we giggwera
Nga nkumi nnya z’eziriwo mwenna ne mukunyuula
Baakulabye ng’emipakasi ogibala
Olwo buli omu n’akuwumya
N’odda mu ggumyanga mutwe
Kw’ogatta emigunwa gy’empalana
Mpozzi nga toyimbye nnyo n’obulwako gw’osinga
Leka ntwale buno obutono bw’ampadde
Kasita siviiriddemu awo nga be ssimenye
Ngya kuddanga ng’omugenyi bw’abeera
Mbalabeko obunaku oba ewiiki neddireyo
Okusinga lwe nadda okukolerera ebizibu
N’awaka okutuukuuma olwo wa gye mulinsimira?

Kale ŋenze, nzize ewaffe
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Bambi Mbalire kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze kulimaalimako
Munnaffe otulabyeko nnyo
Diriisa kaŋende
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya oba ewiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kati nno muntikke
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋendera ddala omu nga bwe najja
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze

Kati nsonge ne ku bantu be mpulira
Nti bano be bannyambye n’abo abanjeezezza
Abannyambye ndiddira mu ntwala olundi
Kasita enkumbi yiino ntutte mpya
Alex omukungu wa NIC weebale ontawaanyeeko
Singa ndi na mu nziina
Ssebunnya twakazaako lya Kigambo
Oli muganda wa Luyima gw’omu ku bayambi ennyo
Bisegerwa muzeeyi wange onkutte n’onnyweza
Olwo lwe lulasi lwe ninamu
Katende lwa kufa walera n’oyonsa
Lwakuba be wandekera ng’ofudde baali babi
Mu banjeezezza mulimu omuntu ono
Mwenna mubasongerako
Lino ddagala, ebigambo n’ennyimba
Nze ndi mugumu nnyo nnyo singa ndi na mu ntaana
Luyuuguumo oyo ndiba ne mu ntaana
Ne ngugumuka nzijukire ebibi bye yankolako
Mbalire Mbalire gwe ndifa nkutendereza
Wafuukira ddala olukoba lwe nsibya endere enywere
Bizibu bya nsi bambi twandigenze wamu
Gwe ensi ndigiyinza ntya nga nkulese gye nkulese

Kale ŋenze, Mbalire ŋenze nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya oba ewiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo
Kaakati ŋenze
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze baaba

Kati ŋenda naye ntumira bannange bano
Kati ŋenda naye ntumira bannange bano
Ssebatta munnange ojjangayo eka n’ondabako
Kafeero, Kafeero ddayo e Bukunja
Okwatire ddala enkumbi nga nze munno bwe nkikoze
Ŋenze kulima nnyo enfuufu ettunke
Ekirungi we nnimira weewali wo ssiiwasabe
Naye guno omulimu ogw’okuba ku bunkenke
Ne naganga w’ekibuga aah ah
Sijja ate kuguma gendera mu keesi
Ebyo by’ebyange mundabire be ssirabye

Nzize ewaffe
Munnaffe otulabyeko nnyo
Leka ŋende nkwate enkumbi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Ŋenze kulimaalimako
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nga bwe nkola emindi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Eno ndidda obugenyi
Munnaffe otulabyeko nnyo
Nnaku oba nnya oba ewiiki
Munnaffe otulabyeko nnyo

Read Obusika Lyrics by Herman Basudde

Share Mweraba Ngenze Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.