Mummanyi nnyo sikigaana
Naye mummanyi ku ngulungulu nkyabalemye
Siggwayo bakama bange
Nga ndi nnumba mbalagala era nsiiwa
Ntuula ne nsirika eka
Ne nkeneka mmwe kye muyita ate okoowa
Nsonze omwana wa Katende
Olwaleero ngya guboosezaako emmanju
Leka ntakule olutamba
Nalwegulira abalusaasira beeyazika
Njagala njogere ebikuuno
Bye mbabuulira ne mudda mu kungiriza
Naakava mu bakazi ab’entalo
Okugeza Amina eyali adduse e Ttula
Ssaako ensasagge y’abakazi ab’ettima
Abeegwikiriza mu ssabo gye tweraga
Ate ne sifunayo ne kye nasuubira
Mukale abasawo mwengerere nnyo embuto
Naye kati ne bwe munaaligaba ery’emmunye
Sikyakomawo kujja munjune ndaba
Kati ntegeka bya kulokoka
Omulimu ka nguwummule
Walumbe yanteegera wano
Okuwangaala nteekwa kwesega
Munannyumizanga abanyumize
Nti kati bafaanana bati
Nfuuse muntu wa Kristo

Ekindokodde baana battu
Tekiibe kimu waliwo kino ate ekirala
Nandijize noonyaako oba
Osanga ddaaki eyo ne nfuna ow’okuwasa
Naye TASO n’ajja abitta
Atannakimanya muntuule eky’emmanga
Ky’akoze tulikirojja
Abayi basinga n’abalamu leero okutiba
Wayirindi n’ebiguuna
Byaggwawo tekyali kaakati akyabimera
Okwali okogga okususse
Mu balwadde ba siriimu amatama nga ntanga
Tetugaanye mwandigezze
Ne tutenda n’emirambo eminene okwerigisa
Nga muliko awantu awalambe
Nga ne bw’oba mu kkumi
Nva mu TASO alondobebwa
Nti ono kibumbebumbe
Ogugwe gwaggwako kati TASO abumbirira
Ensi etuweddeko etyo
Kati omulwadde n’atannaluba afaanagana
TASO funa stamp
Gw’oddaabiriza omulambe bw’oba osobola okukikola
Awo akalulu ngya kukakuwa
Naye eno enkola y’okutuzisa
Nze nsemberera okubatamwa
Mulambe abantu tubaawule
Nti ono atambuza luggumuggumu
Ng’ebitiiyo tubitegeka

Kye mukoze tetukigaana
Eky’okutuwonya ebibwabwabwa oba okogga

Kye mukoze tetukigaana
Eky’okutuwonya ebibwabwabwa oba okogga
Naye be mujuna ffe
Tulimu omutima gwa ndya kukkuta enkya ŋenda
Emirambo emirungi
Egy’olebwa TASO gitugaanye okweyagala
TASO funa akalambe
Buli gw’okolako olabe nti yonna amanyika
Oba ofune stamp
Okube ogunambanamba ogunene ogw’ebbaati
Gukuume ku balwadde
Nga bw’omulengera atanafuna omwewogoma
Onooba wa kika ki?
Okweka abalabe mukoddomi nkukkuluma
Oba obakuula mannyo
Oba oggyako okutu era ezo zonna nnamba
Nga ffe tugikwata
Nti otunula eri ng’osanze ow’enkonko
Wadde atiba kisusse
Tewali anaaba mumalirivu mwaŋanga
Nga kati abalambe
Bagomokera mu bannaabwe ab’ennamba ne beekeja
Tunaaba tetukyakunyegako
Nti TASO laba guli guti
Ennamba oteekwa gifuna
Mpozzi oyagala tukuwalane

Ye n’omala obalamba
N’omujjuzo gw’okolako gwa kendeera
Kwonomanyira taata
Nti abantu b’ojuna tebaagala bategeera
Nti era ekibaleeta eyo
Obamaleko ebiguuna batte abantu
Ojje ogezeeko bwotyo
Olangirire nti ajja mu TASO anaalambwa
Binaaba bikomye awo
Ojja kuggalawo nga tokyalaba ajja okujunwa
Kyokka Mukama wange
N’eyakugula yakuwa kyokka omudidi
Ng’ojunye basajja
Ssaako abakazi watuwonya okwetakula
Naye tuweddewo ate
Olw’abakwatibwa obutayinza bategeera
TASO funa akalambe
Kyandibadde na kirungi singa olaawa
Ye n’omala okola ekyo
Kyandiyambye n’abalwadde bonna ogejja
Ssiyombye baana battu
Naye TASO kino ojja kikola nga muyambi otusaasire
Olumbe olwali mukenenya
Nze kati ndweyitira mubigula
TASO alongoosa ebibwabwabwa
Omuntu n’abereesera
Ky’obulako ke kabonero
Twawule emirambo gy’okola

Ndabye mwagala okubuuza
Lwaki abalwadde tobagamba kya kwekomako
N’ekyo era ngya kitta
Siriimu aleeta entondo bw’oba omulina
Aleeta n’obusungu
Engeri gy’afunirwa mu kkubo lya kwesanyusa
Oli ajja n’alowooza
Nti oguntwala obw’omu ye olwaki
Okugeza abakyala
Bba agenda n’abufuna ng’aleereeta
Ng’ajja asiiga mukyala
Era ennaku bwe zeekulungula bba asomoka
Omukazi n’asigala awo
Ng’olwo ekisigadde okumujuna nsaasaanya
Nga bw’afuna amukiina
Teyekuluntaza yeefunira eka ettooke
Wayirindi bw’amukwata
Anaamumanyisa abalenzi be omutegeera
Kyava adduka emisinde
Ewa Uncle TASO abawawule oboogoloza
Kati nze kwe kubuuza
Nti oba ddala TASO otulumirwa ki obaleka?
Yokya enjokyo abalwadde
Ey’omusaalaba mu kyenyi bw’oba osobola
Oba baka makansi
Obaggyeko engalo eya ddyo eno eya nasswi
Olangirire bwoti
Nti buli ngalo mwenda yalinnya ku nkandaggo
Ffe abamanyi okukwana
Tumala kukebera ngalo zino obyogerako ekyo kijuna

Nze okuva ku bakyala
Ngya kukikola mu bulumi obw’ekitalo
Ssirwakuba mbakyaye
Naye ennamba y’okubaawula nkyagisaba
TASO olunaamala ekyo
Nga nze nzira mu kisaawe na kakkalabya
Naye kati ndi bweru
Ennamba ya TASO gye nninze obyongerako
Nga njawula omulwadde
K’abe n’ettama eggejjuufu ng’amaboga
Omanyi ennume ekitutta
Gy’emibiri egitiba gino on’ompagira
Bwe yeyiringula ati
Wenna wenna n’ogujubana ng’anaalya
Tulabye nnyo baana battu
Guno omululu gw’ekisajja gwa tumazaawo
TASO nsaba otutaase
Tulambire bbulooka zo ennene onootujuna
Obumbye mataffaali
Ssaako erinnya lya factory ki efulumya
TASO funa akalambe
Buli gw’okolako aveeko waakiri oba okugulu
Ng’olwo abali ku miggo
Tewennyonnyolako tukudduka oba ottirawo
Ng’olwo abali ku miggo
Tewennyonnyolako tukudduka oba ottirawo
Naye ensi eggwawo nnyo
Woolitegeerera ekyo ng’ensi yonna matongo nkikwolese
Siriimu twali tumwawula
Ng’akozza abantu baaluma
Kati banogoka bunogosi
N’eggulo gwe wasuze naye

N’aba nkoze kikyamu
Bwe neerabira okubeebaza mba nimba
N’aba nkoze kikyamu
Bwe neerabira okubeebaza otulabirira
Mukoze omulimu ettendo
Ensi ogimalamu abakoggufu ab’omubiri
Mulina n’akasente
Okola kubatasasula mwekakasa
Naye nsaba akalambe
Oyo abeeropedde taddira tumanyiira
Buli alabikako eyo
Okumuwa empeke mumusooke eky’ennamba
Amannya temugabuuza
Yenze Basudde omukenkufu mu by’okunyumya
Ssinyumya bibooziboozi
Ebitaajune okubinyumya ntuula eka
Ssiggwayo baana battu
Nga ndi nnumba mbalagala era nsiiwa
TASO ono ne siriimu
Mutandikire awo abayagala obyongerako bye mulaba
Katonda njagala abaluŋŋamye
Ng’abalamiza bye mukola
Siriimu waanabanonera
Omanyi ali ku luggi we musula
Ayitawo gw’ayaniriza
Tusisinkane omukyo guli
Ŋenze kunoonya bye ndidda nabyo
Mundabire be muli nabo

Read Mweraba Ngenze Lyrics by Herman Basudde

Share Ggwanga Ki TASO Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.