Ebiyita ekiro basajja bannange
Nagudde mu mpaka amatumbi g’obudde
Zaavuddeko oluyombo ne tutaasa ate
Ng’ekiryo n’omuwafu bisimbana amaala
Wamuwafu yasoose kwewozaako nnyo
Nga bwali lwadagada yegolola mu bbanga
Era mu babinywera abalirwayo nnyo
N’asasira ekiryo okwewalulanga kityo
N’akirumiriza obunafu ki bambi
Okubulwa enkizi ekisimba mu bbanga
Ne kirandiranga ku mitula mpozzi
Yakinagguse muwafu n’asussa!
Kiryo ng’akotese omutwe yasoose ati
Nti muwafu oli muswavu ogulumira ennyo otyo
N’obalangako buti obutontogolo!
Ate obukambagga gwe akoma mu bire sorry
Nze ne mbala agasujju namogge gati
Agawoomera abali bagawenja nnyo nnyo
Kale omugejjo gwo gukuyambyemu ki?
Ka neewalule nga njuna bannange
Oli nakyemeza teri ayoya kulima
Sso nze n’alima ekisambu kye antaliza
Lwa nsonga ssibala butontogolo
Nvaako kawedwa w’agasujju munnange
Amangu ago muwafu n’atwagga
Tubataasizza naye gwe oyizeemu ki?
Muve no ku bigambo bw’ofuna essanga
Lya bbeeyi naye eriyo alina gold, eh oh

Bannange ebintu mbiyize nnyo nnyo
N’asiiba mu ssasa ewuwo ebula enkumbi
Ne yeetenda bw’aweesa ennyo okamala
Naye nga by’aweesa abataweesa be bafuna!
Ennyange yajja n’evuma kkapa obuuso
Nti n’obutama bwagisitama era mbi
Ba wansolo teri ayagala kantu ako
N’omuntu akaagala muttira mmese mpozzi
Nnyange yakangaladde nti laba nze wano
Nsiiba mu ggana ery’ente ng’ataano
Tezinkaayanya ne bwe nzirinnya ku nnyindo
Ndi muyonjo ne mu face nnyange nsanyusa
Mwami kkapa naye n’avaamu omwasi
N’agamba nnyange agira ava ku nsi eno
N’asaba amuwe ekibuuzo bw’akitta
Ng’amuviirako ddala taliddira munyega
N’amubuuza nnyange osiiba mu nte gwe
Wanywako ku tuta otukamwa mu nte eyo?
Laba nnyange bw’ajja akanula amaaso
Nga ne langi y’amata ssimwangu wa gimanya
Kkapa n’ajuliza nti ssinywa mata nderuka
Agava mu nte mw’osiiba ng’ogomoka
Gansanga na waka nga ngalamidde awo
Kale omukago n’ente oguggyemu ki?
Nnyange kata anoonye ennywanto ey’ente
Anuuneko ategeere bwe yafiirwa edda
Naye nga n’olumwa lusongovu nnyo nnyo
Anuuna atya ennywanto ekamulwa otuzzi
Y’eyannyonnyola banne nti tusiiba wano
Naye ow’omukago amata agawa ppusi!
Gwe awulira mu kino oyizeemu ki?
Kye werowooza ssi ky’oli munnange eeh

Ebintu bizibu basajja bannange
Nalabye oluyombo olw’okutu n’eriiso
Nga luva ku nnyonyi eyayise mu bbanga
Ku ssaawa nga mukaaga ezoomu ttuntu
Kutu yawulidde ennyonyi mu bbanga
Liiso n’atunulayo okusobola ogiraba
Kko kutu nti eh eh liiso ontyanga
Ssiba giwulira tobadde wa giraba
Liiso n’abigaana nti kutu osaaga
Yogera erangi y’ennyonyi eyiseewo wano
Erangi olina kugibuuza nze
Wadde weetenda okuwulira okamala
Bwe nzibiriza wadde gw’owulira
Kizibu okuŋamba ntino laba ekinnya
Sso ne kyotowulidde nze nsobola okiraba
Okugeza enjuba ngiraba mu bbanga
Kanzibirize ombuulire munnange
Nti mpulira enjuba eri mu ssaawa nga ttaano
Kutu n’akakasa nti akola naye liiso
Bambi y’akola omukira
Oyizeemu ki gwe ampuliriza obwedda?
Linda bakuwaane nti ono asusse
Ojja kwerowooza kyotoli taata
Linda abalala bafuuke minzaani
Liiso yandisinga ku kutu mpozzi
Naye eriyo bwongo ate akira bombiriri
Anti liiso ne bw’alaba okamala
Tategeera ky’alabye bwongo bwatakola oh

Wandikola ekintu okulumya gundi
Ate n’owunzika ng’oyambye muyambye kkiriza!
Ppereketya w’akasana ajja abonyaabonya omuddo
N’aguwotola obukoola gu bambi
Ne gukukkulumira njuba okugwokya atyo
Ne gusaba kire alageko mu bbanga
Yeyaliirewo akole nga manvuuli
Aguwonye ku njuba naye agutta
Kire naatabeera mubi ng’akeera
Nga yeyaliirawo bulungi mu bbanga
Njuba bw’atebuka okulengera omuddo
Nga teri waayisa mmunye kire akutte
Njuba n’asunguwala, awo nnyo nnyo
Omuliro n’ayongeza ku switch
Asaanuuse kire ave mu bbanga
Buwungeere ng’ababirira omuddo
Olubabu olungi ate kire bwacamuka
N’asaanuuka ate n’akola amazzi
Ne muva ekire ky’enkuba yatonnya no
Muddo n’aweweera okufuna amazzi
W’akulukutira kire aggwe mu bbanga
Muddo yali awewedde agimuka atinta
Ng’olwo njuba ne bw’ayaka takyatiisa
Ayamba buyambi okubawa ebbugumu
Bw’owulira ebyo nootova ku nsi eno
Mpozzi ng’obwongo olinamu amazzi
Ntambulidde mu nsi mu luguudo olwo
Ntambuza ennyama ndabye ebikuuno nze Basu!

Kinannyiiza okubabuuliranga bino
Ne mufundikira ng’abamu temuggyemu
Toyagalizanga kibi kugwa wa gundi
Oba okusanyuka munno ng’ajeera
Sseggwanga yatema akakule bannange!
Ng’eggumba lituze nnyinimu ng’alya enva
N’alalira n’akagumba k’enningu
Ng’ate sseggwanga yali awonya empagama
Sseggwanga nnyamba nvumula empagama
Kko sseggwanga ebintu byo obirya omu oti
Olaba n’ekinyeebwa okukiryako wano!
Nga nkibbye wemuluddeko nvaako
Nze ne mpenjanga obuwuka mu ssanja
Gwe n’osolobeza amasavu g’enningu
Nze nakutya tampanga na ku nkejje
Nange ssebo ngirya lwa gindyako awo
Nga yesekera akookolima agenda eyo
Labayo empagama nnyinimu bw’emutta
Abakungubazi ne baba nkumu abajja
Bakaabire ku munnabwe olw’enfa embi
Laba omukungubazi omu abuuza sseggwanga
Nti oli w’ebunaayira eri oba obeera wano?
Kko ye ndi wa wano era nnumiddwa nnyo
Mukama wange okunfaako amangu atyo!
Omukungubazi omulala yateesa ati
Sseggwanga tumulye nnyiniye eka afudde
Ani anamugumya agulumbe muno?
Ka lujumba y’omufu nayo etere edde wano
Singa yavumula nnyinimu sseggwanga
Tebandimukozeemu nva mu budde obwo
Kendeeza ku ttima musajja munnange
Bino basudde bye mulinjulako ng’anfudde eeh

Engero z’owulira ezaagerwa ba jajja
Zirina amakulu mangi ate buli side
Tuzikozesa bubi olumu sso no
Bw’ozitambaala teri lutakwanguyira
Zirindaba olwange ab’ettima olwo lwe lwammwe
Bwekataligirya olwo luwa essuubi
Waggwa ekunta amalindirizi lwe lwammwe
Agaba nga mulalu ate olwo lwa babbi
N’ezikookolima lw’abanyiikivu abafuna
Bbugubbugu aluggambye aba alabula
Kiriba edda lwa bagumiikiriza olwo
Amaanyi tegalya abaduma lwe lwammwe
Abantubalamu magoma lwa maanyi
Lulaga abakubi b’engalo nti ba ffujjo
Abakuba ezizo bw’obakuba enkoona
Osanga be bamu abakuba eza gundi
Akuwaliriza okulinnya bw’oneguka
Bannanfuusi olwammwe lwe luulwo
Gwotonakaddiya luyigiriza nnyo nnyo
Namanyaako ddi nti nfuna embale mu maaso!
Kamukamu abanyiikivu nabo lwammwe
Linda kiggweyo olwo lwa bagayaavu
Obufumbo ssi kunaanya lwa ba namaka
Awasa abuuza ate olwo lwa ba ssemaka
Kale omuntu asomesa okutuuka awo
Nsaana ki bwoba gwe osasulira abakola?
Nsaana nsabirwe Herman ngira nkyassa
Kuba guno omutwe sirina mwereere

Kati omulungi n’omubi manyi oyawula
Nti bwe nkola bwenti ngwa mu kiti nga kino
N’ebintu by’olaba kati ofunye enjawulo
Ekirimu empeke n’ekitaliimu nsa
Kale no baana battu bwe kibeera kityo
Kye mbadde njagala ekindasanya obwedda
Bw’omanya ensobi yo oluusi okyusa
Era bw’omanya ekibi okiyita ebbalama
Nze mbatunuulidde wabula amadda
Atakyuse ndimwatula erinnya
Nammwe bwe mukolanga ng’onaavumula
Omulwadde w’enjoka tonoga lya ntunuka

N’akulabako akatono aba akyadde
Mukkirize okugenda kwange kuno
Nswaswa etayanula ekola engalabi
Muŋambire abatazze nsaaliddwa nnyo
Repeat till fade

Share Ekiryo Nomuwafu Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.