Mungu akuwadde kyotagenda kuddamu kulaba
Ye muntu akuyimbira ebinyuma ate nga makulu
Ate ng’abisengeka ne bibaamu amasavu
Kannyimbe ku by’olumbe ojjamu mazina
Bannange bwe ndivaawo walibaawo okunyolwa
Ebiddawo tebyenkanankana kyo okimanyi
Nga wadde baagereesa nti awakula ennume
Naye bukyanga Kawalya avaawo mpaawo yasika
Ffe abaddawo era twajja na byaffe laba ennaku
Bambi ebibye yaziikwa nabyo kw’olwo lwennyini
Wadde abamu bakoppelera bagonze obulago
Naye eryango lye Kawalya lyawufu kale
Nange bwentyo bwe ndisaaliza abampagira
Nga wadde walibaawo abaggya nga bwe kiba
Kale no mwasuze mutya nze gyendi buli lukya
Lusinga obuzibu ku luyise ekyo kikulu
Ssi ndwadde, ssi njala, ssi bwavu kaakati
Teri na gwe weewoleza nti laba bwe biri
Gwotendera enjala kakutiya eri e Masaka
Yaakuddamu e Busunju bwe bawenja akawogo
Obwavu bukutunza bibyo mu nju obuwone
Ate agula yatunze enju eno ensi etabuse
Abaafa ne kabatanda ne bakyuusa obuufu
Bazingula kiro engugu baviire ekibabu

Simanyi obuzibu bw’ensi eno buli omu abulaba?
Gwe atanabulaba kkiriza olinga omuzibe
Eno ensi bweba mmotoka yava mu kkubo
Kati eddukira mu nsaalu ssaako obusaka
Egira ne yeggunda mu gannya aganene
Abamu ne tukunkumuka abafa ne bafa
Abamu ne bawambira ku board wabbali
Kyokka avuga yadiima lumu mpaawo kusala
Eseerera ne yekiika eba edda e Masaka
N’ekyamuka awo n’ediima ng’edda e Busoga
Kondakita yacankalana n’ono omuvuzi
Olwa siteegi kwetikkulira ng’eziyisa
Kye yava abaka ekitiiyo ate nga kinene
Ku siteegi atiiya ayiwayo abafa ne bafa
Simanyi ebiziyiza bya bus eno Dunia
Bye byafa buli lw’alinnya n’eyisa empewo?
Abakyalemedde mu bus tulina obulamu
Wadde abamu kantolooze agenda abagoya
Waliwo abatudde kumpi n’ewatuula omuvuzi
Beweeseza bizungirizi baviire ekibabu
Naye engeri gye baddukira gyeteba mmere
Ogw’okulya gukyabasibye kyokka olubuto!
Bus dunia ewomoggoseko agatuli
Zi sekabuzooba zaggwaamu egenda etukuba
Yakola ne over-charge kale wulira!
Ettaala ne zibumbujja okira ku luli
Ekyo ssi kya bulimba kati labayo omusana
Wamma bus dunia kkekete lyennyini
Eyatambulirako mu bus eno nga lumamyo
Tusaasire tutudde bubi mpaawo kya kola
Naggambye ku siteegi bw’eyitako buyisi
Tekyayimirira balimu kufuna mmere
Kati enjala eri mu bus abaali abanene
Bambi embuto zigudde kuli ssaako amatama
Abakalu bayisa emikono mu madirisa
Ne banuula ku misooli lw’eyise awali emmere
Oyo afunye no mu bus aba nga Kabaka
Mwenna ne mumuvunnamira abawe ku mpeke
Driver yandikyusiddwa ye ono atutamye
Mukama n’otufunira omulala anaavuga empola
Oba otwaleko mu bus…
Oba otwaleko mu garage bus dunia
Efune ku service kaakati ttalo
Amazima kkekete nnyo yonna enkuyege
Zaagirya akayumba konna konna bituli
Kondakita omugambeko naye adde ku nkola
Ekitiiyo ky’atutikkusisa taata kinene
Atiiya n’abatanatuuka kukuvaamu kirabe!
Myaka abiri, kkumi n’ena ssaako abawere
Ayi taata My Car todda mu ntebe
Bus yo edobonkanye gikyuuse abakozi
B’oteekamu obabuulire siteegi zennyini
Kw’erina okutikkulira ng’ate mu mpola
Naye tufa tuggwawo yamba Mukama
Olw’embeera embi eri mu bus dunia

Okumanya speed ya bus kwetuli nnene
N’abalimu tuwunzeeko obwongo ne bufa
Efuuse ya kulimbagana wulira ennaku
Era erimu obukuukuulu buli eyo mu nkumi
Leero Yesu yafuuka Yesu simanyi kale
Buli omu amukugamba bubwe n’anoza enjiri
Buli omu awakanya munno nti nze mumanyi
Banaatera kukwatagana beeteme embale
Yezu gira otutangaaze kino kibabu
Aah ah tolinda budde buli abantu bo bafa
Inspector General Yesu Kabaka
Gira olambule ku bus ndoopye kaakati
Ate oba nnyiye obukuukuulu obwa buli lukya
Ate ng’empaka ziri kw’omu Yesu wennyini
Kali akabinja kakuyita Issa Masiya
N’aba Seventh Day baabo wabbali
Abaduventi n’abasodokisi baabo mu ntebe
Ez’emabega mu bus nduulu y’evuga
Oba olinda bakwatagane Yesu yogera
Nze ndabayo abafungizza bus etabuse
Atuma omukulu tamagaamaga kyo nkimanyi
Tugambire Muhamadi naye ajje ku luno
Kampuni ye yacankalana bus eginyiye
Erimu ekibinja ky’abakozi abasala empale
Beeyita ba Tabliq mu Luwarabu
Mu Luganda bwe ndiba ndifunye ndidda ndibawe
Bacankalana ne bannaabwe buli lunaku
Ku bombi abacankalana omutuufu atubuze
Kko nze bino bisaana ye nannyini kale
Abeeko ky’atutangazaawo atumatize
Ki bus ky’ekikadde ate mwe muli entalo
Omuntu alabye ennaku
Mu bus dunia

Kondakita wa bus mwami mukulu
Kyokka enneyisa tegya mu myaka gye mukirabe
Asajjalaata mu bus alinga Kabaka
Atikkula n’abakyabulayo mayiro ekkumi
Bw’omwogerako okututikkuza atyo effitina
Akuddamu nti genda ogusabe bagukuwe
My Car gy’asula ky’ekyalo ekiri e Bule
Sirina we mutuukirako ndoope bwe tufa
N’enva gye nva mu bus ŋendeyo e Bule
Yambula ssi ku ndiima maama kwe tuli
Ate omulyango gw’aba gumu bwe yali ekolwa
Kondakita ono kwatuula ate nga mulabe
Amaka ge gali Ttanda bw’aba agenze
Deputy we Kayikuuzi abaawo ku duty
Tuli ba kubeera mu bus eno mu bunaku
Okutuusa lw’erisensebuka efuuke ebiwagu
Ate my car yaweesa emu yokka mwetuli
Mpozzi endala nga tenaggwa gyeri mu ssasa
Ye n’agiweereza nti yiiyo muve mu kino
Nze nsookera ddala mu mpya okumanya nanyiwa
Naye maama n’otwelabira bwotyo Mukama
Bus esusse ebizibu ebya buli colour
Endwadde ezitakyavumulwako na basawo!
Ne pilot wa bus atuvuza ettima
Ne kondakita omutemu atikkuza ettima
Atakyasosola atuuse kuno kulaba
Ne bus yennyini egenda esukka obukulu
Wadde yali ekoleddwa mu zisinga obugumu

Bannange ekiri mu bus ffenna mwetuli
Okukinyumya okimala kutta lunaku
Engeri gu bus dunia gye guli ogugazi
Gwasalwamu obubinja ne bulonda abafuzi
Buli kabinja n’erinnya eryako lyennyini
N’abakalimu erinnya lye babayita
Kati mu bus mulimu nti bano barasa
Bannakenya, bannayuganda n’Abazaire
N’abalala gyebali geza Abangereza
Abamerika, n’Abadaaki abalala Angola
Kati obubinja bwafuuka lumbe lukulu
Buneneŋŋana obumu ntuula obulala mmere
Mu Middle East leero yo eyo kibabu
Ki bus eyulise emitto gyonna bituli
Akabinja Uganda kali ku mbaawo zennyini
Museveni y’addaabiriza emitto ebituli
Ki bus ky’ekikadde kwe tutadde ebisago
Kale no kakisensebuke embaati nga zigwa
Wabula Kitaffe My Car kyusa mu nkola
Ey’okutuula n’olatta ewuwo mu ntebe
Gira oddaabirize bus naddala body
Omusana gukendeere esaane ebituli
Ne bi globe by’enjuba yo osseemu ebiramu
Bino byengeredde nnyo byonna lubabu
Kale nze nayingira bus ku kyalo Buwere
Ku kyalo Bukadde nga nkimanyi nti wenkomya
Ku kyalo Bwana twayitawo no na kifuba
Kondakita yali antikkulira awo kifuba
Kyalo Buvubuka kwe tuli naye ndi ku nkato
Kondakita ambuuza nnyo we nkoma kale
Nkanda kwewozaako nti nkyabula ssebo
Ye agamba mutufunzizza bus etoniye
Alirwa edda n’atutikkulamu oba ku kifuba
Yamba taata My Car Ddunda Kabaka

Basaabaze bannange mwenna mbasabye
Tutandike okuteeseganya mu ngeri bbiri
Nga bwe tukitegedde nti bus yagenya
Ne nnyiniyo takyasobola kugizza mu ssasa
Ate bagitutikkulamu bwe batugoya
Kondakita bukya anyiiga n’oli agivuga
Tekyasiba ne weetegeka oveemu mu mpola
Kati buli omu yenyweze bus etabuse
Ekitiiyo we kikuwendulira okuyiwa ettale
Ng’ebitambuliso byo obirina ate nga binovu
N’ensimbi za My Car Ddunda Kabaka
Zitegeke azibanjirawo kw’olwo lwennyini!
Omanyi yatussa mu bus batulamaze
Nga tutambulira ku bbanja mpaawo akunyega
Bw’ovaamu ewuwe gy’ogenda n’akubalira
Ezija mu lugendo lw’omaze mu kkubo
Agenze tazirina ensimbi teba kuwoza
Ekkomero lye ggeyena gy’olisibira
Agenze talina nsimbi teba kuwoza
Ekkomero lye ggeyena gy’olisibirwa
Ebyo byemanyiko ku bus dunia
Obwedda gye nzize nyinyonnyola mugiyige
Ekigambo dunia kigambo kya Luswayiri
Amakulu gaakyo y’ensi eno kwe tuli
Bus dunia nkadde kyokka yaguma
Jajja wo gwotaalabako naye mwe yayita
Ndowooza oyo yali ebiziyiza bikyakola
Ng’esiba mirembe ne bavaamu mu mpola
Ebya luno bibi kitiiyo ky’ekiramula
N’abato balugenderamu atiiya wa ttima
Basudde bye mulinanga nvaamu bikulu
Mwattu ate nebitandabika bwe mba mu kkubo
Kanfune we neekwata ebinnya binkuba
Ssi ku ndiima ya bus eteri mu kkubo
Ngya kudda mangu ate twongerere ku bino
Mpozzi ekitiiyo kintiiye by’ebyo ba ssebo

Share Bus Dunia Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.